FDC Etegeka Kutongoza Kibiina kya Byabafuzi, Abakulu Bagamba Abantu Beebabasabye
- ByAdmin --
- Mar 12, 2024 --
Ekibiina ki FDC ekituula e Katonga kyandiwalirizibwa okukola ekibiina ky’ebyobufuzi olw’akazito abawagizi kebatadde ku bakulembeze bakyo basalewo ekyenkomeredde ku kkubo ettuufu lyebagenda okukwata oluvanyuma lw’okwawukana ne banaabwe abe Najjanankumbi. Mu nteekateeka y’okwebuuza ku bawagizi babwe etongozeddwa olwaleero mu Kampala n’emiriraano abawagizi ba FDC bategeezezza nti n’abawagizi b’ebibiina ebirala bangi beetegefu okubeegattako singa batongoza ekibiina ky’ebyobufuzi.