FDC Erangiridde Olukiiko Lw'Abakulembeze
- ByAdmin --
- Feb 20, 2024 --
Wakati nga beeteekereteekera Ttabamiruka wabwe, ab’ekibiina ki FDC ekiwayi kye Katonga bayise olukiiko lw’abakulembeze mu kibiina ku mitendera egyenjawulo ku lw’okusatu lwa sabbiiti eno okubannyonnyola ebituukiddwako olukiiko olukulemberwa akola nga pulezidenti wa FDC Ssaalongo Erias Lukwago olumaze emyezi mukaaga nga luddukanya emirimu gy’ekibiina egyalukwasibwa. Ssentebe wa FDC mu ggwanga omulongo Wasswa Birigwa agamba nti olukiiko lugendereddwamu kwongera kuteekateeka nakunyweza mirandira gya FDC mu ggwanga.