
Ettendekero lya Buganda Royal Lisajjakudde, Lijaguzza Emyaka 25 nga Litendeka Abayizi
- ByAdmin --
- Jul 25, 2024 --
Nnaalinya Sarah Kagere atenderezza emirimu egikolebwa Ettendekero lya Buganda Royala Institute of Business and Technical Education okubangula abaana b’eggwanga mu mirimu gy’emikono gy’agamba nti gigasseeko nnyo ku byenjigiriza by’Eggwanga. Bino Nnaalinya abyogedde bwabadde ku mukolo gw’okujaguza emyaka 25 egy’Ettendekero lino n’okwebaza Katonda olw’ebyo byebatuuseeko nga abakungu ab’enjawulo okuva e Mengo ne Gavumenti ya Uganda nabo tebalutimiddwa mwana. #Gambuuze #Ageesigika #BBSKATI