Ettaka ly’Abasikawutu Liri mu Lusuubo, Akadde Konna Lyanditwalibwa Bannakigwanyizi
- ByAdmin --
- Jul 10, 2024 --
Abasikawutu wansi w’ekibiina kyabwe ki Uganda Scouts Association bavudde mu mbeera nebajjawo obulambe obw’oluguwa obuwateereddwa ku ttaka lyabwe elye Kaazi e Busaabala era bano balumiriza Umar Ssekamate okwagala okweddiza ettaka lyabwe oluvannyuma lwa NEMA okumuyimiriza okuzimba mu lutobazi. Bano bagamba nti singa omukulembeze w’eggwanga tavaayo kuyingira mu nsonga zino bagenda kukunga bannaabwe okwetoloola eggwanga lyonna balwanirire ebyabwe