Essiga Eddamuzi ku Mateeka ga Bbanka, Akulira Abalamuzi Abangudde aba Bbanka
- ByAdmin --
- Nov 26, 2024 --
Akulira abalamuzi ba Kkooti enkulu Omulamuzi Dr. Flavian Zeija asomoozeza abakulira Bbanka enkulu mu ggwanga ku mateeka agalungamya okuwola ensimbi okuva mu Bbanka enkozi z’ensimbi. Dr. Flavian Zeija, agamba nti amateeka mangi ageetaaga okukolebwamu ennongoosereza naddala ago agalungamya ku by’ensimbi, kyokka oluvanyuma akyukidde abalamuzi ba Kkooti z’ebyenfuna okufaayo okutegeera amateeka g’ebyenfuna kibayambeko okusala emisango mu butuufu bwagyo.