Enteekateeka Z'omwoleso gwa CBS-Pewosa Ziwedde
- ByAdmin --
- Mar 15, 2024 --
Mu kwetegekera omwoleso gwa Cbs-Pewosa Nsindika Njake ogw’omwaka gwa 2024 Bannamikago omubadde Kampuni ez’enjawulo basisinkanye mu luggya lwa Bulange okutema empenda ku ngeri y’okutambuzaamu enteekateeka z’Omwoleso. Kampuni ya Simba Automotive ewaddeyo Piki-piki zebagenda okwolesa n’okutunda mu mwoleso guno era bakubirizza abantu okugwettanira.