Enteekateeka z’Omwoleso gw’Ebyobulimi Ziwedde, Eby’okwerinda Binywezeddwa
- ByAdmin --
- Jun 12, 2024 --
Abakulira ebyokwerinda mu disitulikiti ye Luweero nga bakulembeddwamu omubaka wa gavumenti, Richard Bwabye bakakasizza nti ebyokwerinda biri gguluggulu mu mwoleso gwa Buganda ogw’obulimi n’obwegassi ogugenda okubaawo ssabbiiti eno okutandika nga 13 okutuuka nga 16 omwezi guno. Abamu ku bagenda okwolesa beesunze omwoleso guno.