
Enteekateeka Z’okujaguza Amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Zifulumye , Abaadiventi Beebategese
- ByAdmin --
- Apr 09, 2024 --
Obwakabaka bwa Buganda bufulumizza enteekateeka z'Okujaguza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ag'Emyaka 69. Ssentebe w'olukiiko oluteesiteesi era minisita wa gavumenti z’ebitundu, okulambula kwa Kabaka n'ensonga za Buganda ebweru, Owek. Joseph Kawuki ategeezezza nti emikolo emikulu gigenda kubeerawo nga ennaku z’omwezi 13 ku Lw’omukaaga lwa sabbiiti eno ku Kkanisa y’Abaadiventi e Najjanankumbi era eb’enzikiriza y’Abaadiventi ku mulundi guno beebagenda okukulemberamu okusaba.