
Enteekateeka y’Okukebera Enkalala z’Abalonzi Eyingidde Olunaku Olwokubiri, Abatuuze Bakukkuluma
- ByAdmin --
- Jan 22, 2025 --
Enteekateeka y’okuzza obuggya enkalala z’abalonzi mu bitundu ebisinga obungi ekyatambula kasoobo olw’abantu obutajjumbira. Mu bitundu ebimu okukebeera enkalala kuteereddwa mu woofiisi ezikozesebwa abawagizi b'ekibiina ki NRM ekirese abamu ku batawagira NRM nga bemulugunya. Wabula akakiiko k’ebyokulonda kagamba buli kimu kikyatambula bulungi.