Ensonga za Bbanka Eyaggaddwa Zigonjooddwa, Enteekateeka z’Okuliyirira Bakasitoma Ziwedde
- ByAdmin --
- Jun 25, 2024 --
Ssenkulu w’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kukuuma ssente z’abantu abatereka mu Bbanka enkozi z’ensimbi ki Deposit Protection Fund Julia Clare Olima akubirizza bannansi okufaayo ennyo okulondoola Bbanka zebatereka nazo ssente okwewala okubbibwa mu butamanya. Julia Clare Olima Oyet, bino abyogedde akawoola abantu bonna ababadde batereka ne Bbanka ya Mercantile Credit eyaggaddwawo Bbanka enkulu oluvannyuma lw’okulemererwa ababadde bagiddukanya