Ensonga z’Emmwanyi Zikyalanda, Zituuse mu Mukago gw’Amawanga ga East Africa
- ByAdmin --
- Nov 01, 2024 --
Ababaka ba Palamenti yaakuno abamu okuli abatuula ku kakiiko k’ebyobusuubuzi kko n’abatuula ku kakiiko k’ensonga za East Africa bawabudde Palamenti y’amawanga ga East Africa okuteekawo enteekateeka egendereddwamu okutumbula n’okwongera okunoonyeza akatale emmwanyi erimwa mu mawanga gano, ereme kusibira mu mikono gyabannakigwanyizi. Ensisinkano eno ebadde ku Palamenti yeetabiddwamu sipiika wa Palamenti ya East Africa ng’ono akakasizza nga bwagenda okusoosowaza ensonga zino mu ntuula za palamenti ya East Africa, ekikyamudde abawerako.