Ensonga z’Emmwanyi Zikyalanda, Bannakyewa Bawakanya Okuggyawo UCDA
- ByAdmin --
- Nov 04, 2024 --
Ekibiina ekirwanirira obwenkanya n’eddembe ly’abakadde kyagala Palamenti eremere ku nsonga y’okutereeza amateeka agaleetebwa ku mmwanyi nti kubanga bwebatakikola kiyinza okwongera okukosa obulamu bw’abakadde kubanga bangi babadde bayimiriddewo ku Mmwanyi. Waliwo n’abaagala Palamenti erondoole engeri ebyobugagga bya Coffee Marketing Board gyebyasaanawo n’abantu abaabyekomya.