Ensisinkano ya Buganda Land Board n’Abataka b’Obusolya, Ebifo Byakuteekebwa mu Byapa

Amyuka Ssenkulu wa Buganda Land Board, Bashir Kizito akubirizza Abataka ab’obusolya mu Bika okulamba ebifo eby'Ennono eby'enjawulo, kisobozese ekitongole kino okubikuuma obutasaanyizibwawo nti kino kyakusitula n'obulambuzi mu Buganda ne Uganda okutwaliza awamu. Ono okwogera bino Kizito abadde ku mbuga enkulu e Bulange Mengo mu lukiiko lw'Abataka mwe bakung’anira neba Katikkiro baabwe mu kukubaganya ebirowoozo n’okwogera ku nsonga z’ettaka ly'obutaka ku ngeri y’okubukuuma. Omukubiriza w'Abataka Augustine Kizito Mutumba naye akubirizza banne okulamba ebifo bino BLB ebakwasizeeko okubissa mu kyapa.


LEAVE A COMMENT