
Ennongoosereza mu Kulonda Abalamuzi, Essiga Eddamuzi Lyagala Bannaansi Benyigire mu Kubalonda
- ByAdmin --
- Apr 03, 2025 --
Abalamuzi abazze bakozesa obubi ebifo byabwe bandisanga akaseera akazibu okulinnyisibwa amadaala, oluvanyuma lw’Essiga eddamuzi okukakasa palamenti nti waliwo ennongoosereza ezigenda okukolebwa mu ngeri abalamuzi gyebakuzibwamu, nga zino zaakusobozesa abantu baabulijjo nabo okwetaba mu kusunsula abalamuzi ababa bagenda okukuzibwa. Omuteesiteesi omukulu mu ssiga eddamuzi Pius Bigirimana ategeezezza akakiiko ka palamenti ak’ebyamateeka nti kino kyakukolebwa oluvanyuma lwa bannansi abawerako abazze beemulugunya ku ngeri abalamuzi abamu gyebalinnyisibwamu amadaala kyokka nga empeereza yaabwe ebaddemu ebirumira. #Gambuuze #Ageesigika #BBSKATI