
Enkolagana ya Poliisi ne JAT, Ssaabaduumizi wa Poliisi Avuddemu Omwasi
- ByAdmin --
- Mar 12, 2025 --
Kyaddaaki Ssaabadduumizi wa Poliisi, Abas Byakagaba akkirizza nti Poliisi ekolagana n’akabinja ka JAT era nti kamu ku bubinja obuduumirwa abakuumaddembe wabula nti oluusi engeri gyekeeyisaamu eva ku neeyisa ya bannansi. Bino bibadde mu nsisinkano abakuumaddembe gyebabaddemu n’akakiiko ka Palamenti ak’ebyokwerinda ku nsonga z’ebyowerinda ez’enjawulo omuli n’ekya kkamera za Poliiisi enkessi wezituuse mu kulondoola abamenyi b’amateeka.