Emyaka 30 Egya Greehill Academy, Owek. Nsibirwa Akubye Abazadde Akaama
- ByAdmin --
- Apr 22, 2024 --
Omumyuka owokubiri owa Katikkiro era omuwanika w’Obwakabaka, Robert Waggwa Nsibirwa akalaatidde abazadde okuteeka amaanyi ku kugunjula abaana n’okufuba okubakuliza mu mpisa basobole okuganyula eggwanga. Owek Waggwa era asabye abazadde okubeera abengendereza nga balonda amasomero gyebasomeseza abaana kubanga essomero likola kinene nnyo ku bulamu bw’omwana obwomumaaso. Owek. Nsibirwa bino abyogeredde ku mukolo gw’okwebaza Katonda olw’essomero li Green Hill Academy okuweza emyaka 30 nga libangula abaana b’eggwanga.