Empaka z’Obwannalulungi wa Buganda, Busiro Eyungudde Abagenda Okuvuganya
- ByAdmin --
- Apr 18, 2024 --
Essaza Busiro litongozza empaka z’obwannalulungi bw’Essaza Busiro ez’omwaka guno mwebagenda okusunsulira bannalulungi basatu abanaavuganya mu mpaka za Miss Buganda ez’omwaka 2024/2025. Zino zitongozeddwa omumyuka ow’okubiri owa Ssebwana, Vicent Kayongo era asabye Bannabusiro bonna okuziwagira Essaza lyabwe liwangule.