Embeera y’Abakozi mu Ggwanga, Amateeka Agabafuga Tegayambye
- ByAdmin --
- May 02, 2024 --
Omuwendo gwa bannayuganda abali mu myaka egy’okukola era abasomye abeyongera okufuluma eggwanga okugenda okukuba ekyeyo e Buwalabu, Canada, America n’ewalala gweralikirizza nyo abakulembeze nga bagamba nti eggwanga lyandisanga obuzibu. Bano bagamba nti ekizibu kivudde ku gavumenti kulemererwa kuteekawo musaala ogw’essalira mu ggwanga ekiremesezza bannansi okufuna mu ntuuyo zabwe.