Embeera Esiibye Yakinnyikaggobe mu Maka G'omutaka Lwomwa
- ByAdmin --
- Feb 27, 2024 --
Embeera esiibye yakinnyikaggobe mu maka g’Omutaka Lwomwa eyakubiddwa amasasi akawungeezi k’eggulo nga abakungubazi bangi beeyiwa mu makaage okusaasira ab’omumaka ge n’abazukulu b’Ekiika ky’Endiga kyabadde akulembera. Motoka omutaka mwebaamuttidde eggyiddwawo netwalibwa wabula okuttibwa kw’Omutaka ono kutabudde bangi nga bebuuza omusango gwebaamulanze kubanga tabadde namutawaana kumuntu yenna.