Embalirira Y’eggwanga 2024/2025 Esomeddwa Olwaleero, Abasuubuzi Mwenyweze Nnyo
- ByAdmin --
- Jun 14, 2024 --
Abasuubuzi abawakanya enteekateeka ya EFRIS bubakeeredde, oluvanyuma lwa gavumenti okulemerako nti lino lyelimu ku makubo agagenda okuyambako gavumenti okukunganya omusolo ogw'Obuwumbi 31,982 ezitunuuliddwa okukung'anyizibwa mu mwaka gw'ebyensimbi ogujja. Minisita w’Ebyensimbi Matia Kasaija bw’abadde e Kololo mu kusoma Embalirira ey’omwaka gw’ebyensimbi ogujja 2024/25 ategeezezza nti ensimbi ez’okuyimirizaawo eggwanga balina ku zijja mu bannansi, mu byalo ne mu bibuga kubanga gavumenti ekooye okwewolanga entakera.