
Embaga y’Omusirikale wa Kabaka David Kafeero, Katikkiro Amuweerezza Obubaka
- ByAdmin --
- Jun 29, 2025 --
Minisita wa Kabinet, Olukiiko n’Ensonga ez’enkizo mu Woofiisi ya Katikkiro Owek. Noah Kiyimba akubirizza abavubuka obutatya bufumbo butukuvu nga beekwasa olw’ebbula ly’ensimbi kyagamba nti kikyamu. Owek. Kiyimba okwogera bino abadde akiikiridde Katikkiro Cahrles Peter Mayiga ku mukolo gw'Abasirikale mu Ggye erikuuma Kabaka David Kafeero ne Namutebi Eva ogubadde ku Namirembe Guest House.