Ekkomera lye Luzira Ligenda Kusengulwa, Otafiire Ayitiddwa Anyonnyole Palamenti
- ByAdmin --
- Feb 29, 2024 --
Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga Gen. Kahinda Otafire ayitiddwa alabikeko mu Palamenti abeeko byanyonnyola ku kiragiro eky’amuweebwa omukulembeze w’eggwanga ku by’okusengula ekkomera lye Luzira. Sipiika Annet Anita Among okutuuka okuyita Minisita, kiddiridde omubaka Gafa Mbwatekwama okwanjurira Palamenti ebbaluwa ya pulezidenti mweyasinziira okulagira minisita Otafiire okunoonya ekifo awanaasengulibwa ekkomera olwo nno ettaka okutudde ekkomera liweebwe Musigansimbi azimbewo wooteeri.