Ekkanisa ya Uganda ku Kusabira Eggwanga, Ssaabalabirizi Akalaatidde Abantu Okwekwasa Katonda

Ekkanisa ya Uganda, ekowoodde Abakkiriza okweyiwa ku kijjukizo ky’Abajulizi Abakulisitaayo e Namugongo okwetaba mu kusabira eggwanga lyonna wakati mu kusomoozebwa okw’enjawulo kweririmu omuli, obusosoze, ebyenfuna ebyekanamye ekiviiriddeko abantu okubeera abaavu. Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda Dr. Samuel Stephen Kaziimba Mugalu ategeezezza nti mu kusaba kuno kwakubaawo okuva ng’ennaku z’omwezi 20 okutuusa nga 23 omwezi ogujja nga kugendereddwamu okukowoola Katonda abeeko nekyakola eri eggwanga lino eritubidde mu kusoomoozebwa.


https://www.youtube.com/watch?v=WaUraqPt698

LEAVE A COMMENT