Ekitongole Kya Red Cross Kyetaaga Buyambi, Ensimbi Zekifuna Tezikyamala

Ekitongole ky’omusalaaba omumyufu ki Red Cross Society kisabye bannayuganda ku mitendera agy’enjawulo okukyegattako mu nteekateeka gyekiriko ey'okutumbula embeera za bannayuganda abeetaga okubeerwa n'okulwanyisa ebibamba. Ssaabawandiisi wa Uganda Red cross, Robert Kwesiga agamba nti ensimbi zebafuna okuva mu buyambi ntono nnyo ate ziriko obukwakulizo nga n’olwekyo bannayuganda kibakakatako okutambula nabo naddala abali yaddeyaddeko. Bino abyogedde atongoza enteekateeka etuumiddwa Humanity Needs You mwebagenda okuyita okusaka obuyambi okuva mu bantu eby’enjawulo okuddukirira abeetaaga okubeerwa mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.


https://youtu.be/rAC_zsl0_Sk?si=y_AciizTFcGoFCaW

LEAVE A COMMENT