
Ekisanja kya Bassentebe b’Ebyalo Kyongezeddwayo Emyezi Emirala Mukaaga , Gavumenti Terina Ssente
- ByAdmin --
- Jun 25, 2025 --
Gavumenti eyongezzaayo okulondebwa kw’aba Ssentebe b’ebyalo ebbanga lya myezi mukaaga nga obuzibu neera gavumenti ebwesigamizza ku bbula lya nsimbi. Minisita wa gavumenti z’ebitundu Raphael Magyezi wabula alabudde ba Ssentebe ba NRM abakalondebwa ku mutendera gw’ebyalo obuteefuula ba Ssentebe ba LC nga bwebitandise okuwulirwa mu bitundu ebimu