Ekikopo ky’Amasaza Kituuse e Buddu, Abawagizi Bakyanirizza mu Maanyi
- ByAdmin --
- Nov 04, 2024 --
Abawagizi n’abakulembeze b’essaza Buddu basiibye bajaganya nga akimezezza okw’enjala olwa ttiimu yabwe okuwangula ekikopo ky’amasaza eky’omwaka guno. Bano bakedde mu Lwera kulinda bazannyi babaanirize era ekkubo libadde likwatiridde bwebabadde bagenda ewa Pookino Jude Muleke okumwanjulira Ekikopo kyebawangudde.