
Ekikonde Kivuze e Masaka Wakati w'Abawagizi ba Mpuuga n'Abakyagulanyi
- ByAdmin --
- Jun 20, 2024 --
Wabaddewo okulwanagana ng’abavubuka ba NUP bayiwa olukiiko lw’abawagizi ba Kamiisona wa Palamenti Mathias Mpuuga. Olukiiko luno lubadde ku kyalo Nakiyaga mu ggombolola ye Buwunga mu Masaka era lubadde lugendereddwamu okukunga abantu okugenda ku mukolo gw’okwebaza Katonda olw’obuweereza bw'owekitiibwa Mathias Mpuuga wamu ne’byo byamusobozeseezza okukola.