Ekikonde Kinyoose mu Palamenti , UCDA Egattiddwa ku Minisitule y’Ebyobulimi

Ekikonde kinyoose mu Palamenti nga ababaka baagala Sipiika wa Palamenti yeetonde olw’ebigambo ebyamusimatukka ebisiga obusosoze era nga baagala Sipiika Annet Anita Among alekere awo okukubiriza entuula za Palamenti olw’okulaga oludda. Embeera eno tetalizza nebannamawulire abagasakira ku Palamenti era nabo babagobye mu Palamenti nebaggalirwa mu kisenge ekimu era ekiddiridde nabo baweze obutaddamu kusaka mawulire ku Palamenti okutuusa nga obukulembeze bwa Palamenti bubasisinkanye. Newankubadde guli gutyo Palamenti emaze n’eyisa etteeka eriggyawo ekitongole ky’Emmwanyi ki UCDA


https://www.youtube.com/watch?v=wAswT8IXBxg

LEAVE A COMMENT