
Ekika Ky’Ennyonyi Ennyange Kituuzizza ow’Olunyiriri lwa Sserunkuuma
- ByAdmin --
- Mar 11, 2024 --
Ssaabalangira w’Ekika ky’Ennyonyi Nnyange, Sulaiman Kyambadde asabye bazzukulu b’Ekika kino okunyweza ennono n’obuwangwa bazze Buganda ku ntikko. Ono bino abyogeredde ku mukolo gw’okutuuza ow’Olunyirira lwa Serunkuuma mu kika ky’Ennyonyi Nnyange, Ssaalongo Luzaalo Mbalangu Serunkuuma e Kasaayi mu ggombolola ye Kyampisi mu Kyaggwe