Effujjo Erisusse mu Bayimbi, Abakwatibwako Balivumiridde
- ByAdmin --
- Nov 22, 2024 --
Abali mu kisaawe ky’okuyimba n’okuzannya katemba bavumiridde effujo erikolebwa abamu ku bayimbi naddala abo abatambula n’obubinja bw’abavubuka nebatuuka n’okukuba abantu nga tewali abakuuba ku mukono. Munnakatemba omuggundivu Mike Mukulu agamba mu kiseera kino ekisaawe ky’okuyimba kirina ekifaananyi ekibi olw’abayimbi abato abatambula n’obubinja bw’abavubuka kyokka ye obuzibu abutadde ku gavumenti okuba nga yewaga abavubuka bano okwenyigira mukukola effujo.