
Edduwa ya Hajji Abdul Nsereko Erombeddwa, Omulangira Kassim Nakibinge Amutenderezza
- ByAdmin --
- Feb 26, 2024 --
Jajja w’obusiraamu Omulangira Dr. Kasim Nakibinge kakungulu akangudde ku ddoboozi n’awabula abakulembeze okukomya okukkusa embuto zabwe era n’atabukira abalya mu lulime ne mu luzise nebalemwa okulwanirira abantu abanyigirizibwa. Omulangira abadde Bugoloobi mu dduwa y’omugenzi Hajji Abdul Nsereko taata w’omubaka Muhamad Nsereko.