
Ebyenjigiriza mu Bitundu by’Omugotteko, ab’Amasomero Bagamba Basanga Okusomoozebwa Kungi
- ByAdmin --
- Jun 17, 2025 --
Abazadde mu masomero ga gavumenti e Luweero bavudde ku by’okulinda gavumenti okubakolera ku bizibu ebiruma amasomero abaana baabwe gyebasomera. Ebisomooza amasomero agamu naddala agali mu bitundu by’omugotteko mulimu enzikiza mu budde bw’ekiro, eby’okwerinda ebibeera yegeyegge n’ebirala.