
Ebyava mu Kubala Abantu Bitabudde Eggwanga, Abakulira UBOS Bawanda Muliro
- ByAdmin --
- Oct 09, 2024 --
Ssenkulu w’ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibalo mu ggwanga ki Uganda Bureau of Statistics UBOS Dr. Chris Mukiza ayanukudde abantu abazze bavumirira ebibalo byebafulumya wiiki ewedde oluvanyuma lw’okulabikiramu ensobi naddala ku miwendo gy’abantu mu mawanga ag’enjawulo omuli Abagisu, Abasoga n’Abanyankole.