Ebya Ssewanyana ne Ssegirinya Bisajjuse , Omujulizi wa Gavumenti Agyefuulidde

Kkooti ewozesa emisango gyabakalintalo mu Kampala eyimirizza okuwuliira omusango oguvunanibwa omubaka Allan Ssewanyana ne Muhammad Ssegirinya okutuusa nga ensonga z'okutulugunya abasibe abalala mu musango guno ziwuliddwa. Kiddiridde omu ku basiibe mu musango guno Sserwadda Micheal okuddamu okutegeeza omulamuzi wa Kkooti eno olwaleero nga bweyatulugunyizibwa mu kkomera nga abamukwata baagala alumirize omubaka Ssewanyana ne Ssegirinya okubeera emabega w’okutemula abantu mu bitundu bye Masaka. Omulamuzi alagidde Munnamateeka w’abasiibe bano okuteekayo okwemulugunya kw’abasibe bano mu kkooti eno obutasukka ng’ennaku z’omwezi 18 omwezi ogujja era omulamuzi omusango guno agwongeddeyo.


https://www.youtube.com/watch?v=FlS_5fZ5MfQ

LEAVE A COMMENT