Ebya Mufti Mubajje Biwanvuye, Abasiraamu Baagala ali mu Mitambo gy'Omusango guno Akyusibwe

Ekibinja ky’abasiraamu abatakkaanya na bukulembeze bwa Mufti wa Uganda Sheikh Shaban Ramadhan Mubajje abaamutwala mu Kkooti nga baagala okumusuuza entebe batabukidde Omulamuzi wa Kkooti enkulu mu Kampala Douglas Singiza nga baagala ave mu musango guno kubanga alina akakwate ku muwawaabirwa. Bano nga bakulembeddwamu bannamateeka baabwe okuli Luyimbaazi Nalukoola nabalala bagamba nti Kkooti eno terina buyinza kuwulira musango guno kubanga gwali gulina kusalibwa omulamuzi wa kkooti enkulu e Jinja nga tebalaba nsonga lwaki ate omulamuzi omulala addamu okuguwulira. #Gambuuze #Ageesigika


https://www.youtube.com/watch?v=OCWPRBCr0rk

LEAVE A COMMENT