Ebya Minisita Sam Mayanja Bibi , Obwakabaka Bumutwala mu Kkooti

Ssaabasajja Kabaka asazewo okutwala minisita omubeezi ow’ebyettaka Sam Mayanja mu Kkooti olw’okuvvoola n’okumutyobola buli kaseera omuli n’okuyisa ebiragiro ku ttaaka lye erye Kaazi erisangibwa mu disitulikiti ye Wakiso ebimenya amateeka. Minisita Sam Mayanja azze ayogeerera Obwakabaka amafuukule nga gyebuvuddeko yalabwako ku ttaka lye Kaazi gyeyategeereza nti si ttaka lya Kabaka, n’alagira n’ekitongole kya Buganda Land Board ekiddukanya ettaka ly’Obwakabaka kisazibwemu nti tekiriiwo mu mateeka


https://www.youtube.com/watch?v=0QK1cnpBORA

LEAVE A COMMENT