
Eby’okwerinda mu Misinde gya Beene, Bannabyabufuzi Balabuddwa ku by’Obufuzi mu Misinde
- ByAdmin --
- Apr 03, 2025 --
Ebitongole by’ebyokwerinda eby’enjawulo mu ggwanga bikakasizza nti biri bulindaala okuwa obukuumi abantu ba Beene bonna abagenda okwetaba mu misinde gy’amazalibwa ga Nnyinimu ag’emyaka 70 egigenda okubeerawo ku lunaku olwa Ssande. Abakulu mu bitongole bino balabudde abakozi b’effujjo era nebalabula abeesomye okutabiikiriza eby’obufuzi mu misinde gino. Bino bijjidde mu kiseera ng’ebula ennaku ssatu zokka okutuuka ku misinde gino