
Eby’okusasula Ensimbi za Buganda Bizibuwadde , Minisita Musasizi Agamba Taljna Buyinza Busalawo
- ByAdmin --
- May 01, 2025 --
Minisitule y’ebyensimbi ekakasizza nga bwetalina busobozi kusalawo muwendo gwa nsimbi ezirina okusasulwa Obwakabaka ku nsimbi z’ebubanja gavumenti ya Uganda, nga obuvunaanyizibwa ku kino buli mu mikono gya minisitule y’ebyettaka ne Ssaabawolereza wa gavumenti. Minisita omubeezi ow’ebyensimbi, Henry Musaasizi asinzidde ku Palamenti gyeyayitiddwa okulambulula ku mutemwa omutuufu gavumenti z’egenda okusasula Obwakabaka mu mbalirira y’omwaka gw’ebyensimbi ogujja ku butitimbe bw’e nsimbi z’ebubanja.