
Eby’okuggyawo ‘Tik Tok’ Biranze , UCC Egamba Tesobola Kulondoola Bagikozesa
- ByAdmin --
- Apr 01, 2025 --
Ekitongole ekirondoola ebiweerezebwa ku mikutu gy’amawulire ki Uganda Communications Commissions (UCC) kigamba kikyali kizibu gavumenti ya Uganda okuggalawo omukutu gwa “Tik Tok” kubanga tewali mateeka matongole galondoola enkozesa yaagwo mu ggwanga. Olunaku lw'eggulo Mufti wa Uganda Sheikh Shaban Ramadhan Mubajje yasabye gavumenti okuggalawo omukutu guno nga agamba abantu basussizza okugukozesa obubi n’okuvvoolerako abakulembeze. Kyokka UCC egamba tesobola kulondoola nkozesa ya mukutu guno