Ebizuuliddwa ku Ddwaliro lya Kkookolo, Abagwira Bangi Abajjanjabibwa ku Bwereere

Ababaka ba Palamenti abatuula ku kakiiko akalondoola ensaasaanya y’omuwi w’omusolo bawuniikiridde, bwebategedde nti eddagala eririna okuweebwa bannayuganda ku ddwaliro lya kkookolo e Mulago, abaddukanya eddwaliro ate bafundikira baliwadde bagwira ku bwereere. Ababaka basinzidde ku Palameti mu nsisinkano n’abakulira eddwaliro lya kkookolo nebategeeza nti tebayinza kukkiriza kino kugenda mu maaso kubanga gavumenti ekozesa nsimbi ya muwi wa musolo okugula eddagala lino.


https://youtu.be/w4TyRuLGfS0?si=jq8F3Bco7OnujSKL

LEAVE A COMMENT