Ebipya ku Ttaka ly'Obwakaba e Kiboga Bizuuse , Waliwo Abalina Bwino ku Ttaka Lino

Abatuuze abaliraanye Ettaka ly'Obwaabaka e Kiboga erikaayanirwa abeeyita aba Famire y'omugenzi Tera Ssekibamu boogedde ku kyebamanyi ku Ttaka lino bannakigwanyizi lye baagala okwezza. Bbs Terefayina ewayizzaamu ne muwala w’eyali Katikkiro wa Buganda Martin Luther Nsibirwa ng’era yaliko omubaka w'ekitudu kino ate ng’alina ettaka okuliraana lino erikaayanirwa Rhoda Kalema Nsibirwa n’atulambulira obuvo n'obuddo bw’ettaka lino. Ettaka eryogerwako, Kkooti enkulu e Kiboga yayimiriza omuntu yenna obutaddamu kusaalimbirako naye, bannakigwanyizi abaalyezza bakyegenda mu maaso n’okuzimba


https://www.youtube.com/watch?v=Mm5DdKgjHwk

LEAVE A COMMENT