Ebipya Bizuuse ku Muvubuka Sserunkuuma Agambibwa Okutta Omutaka Lwomwa
- ByAdmin --
- Feb 29, 2024 --
Ebipya byongedde okuzuulwa ku batemu abakakkana ku mukulu w’Ekika ky’Endigga Lwomwa Daniel Bbosa bwekitegeerekese nti abamu babadde batuuze be Lungujja. Sserunkuuma Derrick omu ku bagambibwa okubeera abatemu abeenyigira mu kutta omutaka kitegeerekese nti abadde mutuuze we Lungujja mu zzooni ya Bulange A era ng’ono abadde aliko akabinja k’ababbi ababbisa emmundu kaakola nako.