
Ebikolwa by'Okutulugunya Abakadde mu Ggwanga Bisusse, Kivudde ku Mululu gwa Byabugagga
- ByAdmin --
- Jun 19, 2025 --
Minisita omubeezi ow'ensonga z'abakadde Dominic Mafwabi Gidudu akuutidde abavubuka okukola bave mu kutulugunya bakadde baabwe olw'ebyobugagga ekiviirako n'abamu okufa. Ono okwogera bino abadde mu lukungaana lwa bannamawulire ng'ayanjula olunaku lw’okwefumitiriza ku ngeri abakadde gyebatulugunyizibwamu olugenda okukuzibwa nga 20 omwezi guno