Ebigezo by'Amasomero ga Buganda Byanjuddwa ero Owek. Nakate
- ByAdmin --
- Feb 29, 2024 --
Minisita w'enkulaakulana y'abantu eby’enjigiriza, eby’obulamu n'ensonga ez’enjawulo mu woofiisi ya Nnaabagereka Owek.Choltilda Nakate Kikomeko asabye abadukannya Amasomero g'Obwakabaka nga babangula abayizi Ennono n'Obuwangwa nabyo okubisimbako essira kwossa okubasigamu empisa wabula ssi bya mubitabo byokka. Minisita okwogera bino abadde akwasibwa ebyava mu bigezo by’akamalirizo ebya 2023 mu masomero g'Obwakabaka.