Ebibala bya Mmwanyi Terimba, Abe Rakai Benyumiriza mu Kirime Ky’emmwanyi
- ByAdmin --
- Aug 22, 2024 --
Abalimi mu disitulikiti ye Kyotera beeyanzizza Ssaabasajja kabaka olw’okubatandikirawo omukutu gwa BBS ogubayambye okubatuusako amawulire gebeetaaga era agabayambye okukulaakulana mu ngeri ezenjawulo. Bano bagamba okuva enteekateeka ya Mmwanyi Terimba lweyatongozebwa abantu bajjumbidde nnyo okulima Emmwanyi ezibayambye okwekulaakulanya.