
Ebbula ly'Omusaayi Likyalimu mu Ggwanga, Abantu Basabiddwa Okwongera Okugaba Omusaayi
- ByAdmin --
- Mar 01, 2024 --
Abakulembeze mu kitongole ekikola ku kukungaanya omusaayi mu ggwanga ki Uganda Blood Transfusion Service nga kiri wamu ne bannamukago okuva mu ggwanga lya America beeyanzizza Ssaabasajja Kabaka olw’enteekateeka y’okukungaanya omusaayi mu ggwanga okutaasa obulamu bw’abantu abagwetaaga. Uganda eri mu nteekateeka zakutegeka lukungaana lwa nsi yonna olugenda okuteesa ku kukunganya omusaayi mu mawanga ag’enjawulo era lwerusokedde ddala mu Uganda.