
Ebbugumu mu Misinde gy’Amazaalibwa ga Kabaka, Abagula Emijoozi Beeyongedde
- ByAdmin --
- Apr 04, 2024 --
Ebbugumu lyeyongedde mu kugula emijoozi gy’emisinde gy’amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka egigenda okubeerawo ng’ennaku z’omwezi 7 nga ye Sande ya Ssabiiti eno. Ebitongole n’abantu ssekinnoomu olwaleero baguze emijoozi okwetaba mu Misinde gino.