
Ebbugumu mu Kalulu ke Kawempe North , Waliwo Agobeddwa Lwakubeera na Biwandiiko Bigingirire
- ByAdmin --
- Feb 04, 2025 --
Akakiiko k’Ebyokulonda mu kibiina ki National Unity Platform kategeezezza nti abantu 8 bebaakassaayo okusaba kwabwe eri ekibiina nga baagala okukwatira ekibiina kino bendera mu kalulu k’okujjuza ekifo kya Kawempe North. Ssentebe w’Akakiiko kano Mercy Walukamba agamba nti bakukomekkereza enteekateeka y’okuwandiisa abeegwanyiza ekifo kino ku kkaadi ya NUP olunaku olw’enkya.