
Ebbaluwa y’Omubaka Nannyondo Ereese Ebizibu, Yandiremesa Ekiteso Kya Ssekikubo
- ByAdmin --
- Jun 10, 2024 --
Ebbaluwa y’omubaka omukyala owa Bukomansimbi Veronica Nanyondo, gyeyawandiikira speaker wa Palamenti nga yemulugunya ku akulira oludda oluwabula gavumenti Joel Basekezi Ssenyonyi eyawaayo olupapula okuli erinnya lye ku lukalala lw’ababaka abaagala okuggya obwesige mu bakamisona Nanyondo kyagamba nti kyakolebwa mu bukyamu. Bannamateeka bakubaganya empawa mu kutaputa ensonga eno nga abamu bagamba nti kekizuulwa nti Nanyondo ensonga zayogerako ntuufu enteekateeka yonna Ssekikubo gy’amaze ebbanga nga akulembeddemu egenda kugwa butaka ate abamu nga boogera bulala.