
Democratic Front ku Kuggyayo Empapula , Abeegwanyiza Kkaadi y’Ekibiina kati Basukka mu 300
- ByAdmin --
- Jul 03, 2025 --
Ekibiina ki Democratic Front kikakasizza nti abantu abasoba mu 300 bamaze okulaga obwagazi okuvuganya ku bifo ebyenjawulo mu kulonda kwa 2026 ku kkaadi y’ekibiina kino. Pulezidenti w’ekibiina kino Owek. Mathias Mpuuga Nsamba alaze obwennyamivu olw’engeri ensimbi gyezifuuse namuginga mu by’obufuzi by’eggwanga. Ono bino ebyogeredde mu lukungaana lwa bannamawulire ku kitebe kyabwe e Namirembe mu Kampala.